Al-Furqan

سورة الفرقان

Ensura 25 · Makki · 77 enyaata

25:1Juz 18 · lup. 359

تَبَارَكَ الَّذِي نَزَّلَ الْفُرْقَانَ عَلَىٰ عَبْدِهِ لِيَكُونَ لِلْعَالَمِينَ نَذِيرًا1

1. Musukkulumu oyo eyassa Kur’ani ku mudduwe eyawula wakati w'amazima n'obulimba alyoke abeere omutiisa eri ebitonde.
25:2Juz 18 · lup. 359

الَّذِي لَهُ مُلْكُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ وَلَمْ يَتَّخِذْ وَلَدًا وَلَمْ يَكُنْ لَهُ شَرِيكٌ فِي الْمُلْكِ وَخَلَقَ كُلَّ شَيْءٍ فَقَدَّرَهُ تَقْدِيرًا2

2. Oyo (Katonda) bubwe yekka obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi era teyeeteerawo mwana era talina amwegattako mu bufuzi era yatonda buli kintu naakikola olukola olukisaanira.
25:3Juz 18 · lup. 360

وَاتَّخَذُوا مِنْ دُونِهِ آلِهَةً لَا يَخْلُقُونَ شَيْئًا وَهُمْ يُخْلَقُونَ وَلَا يَمْلِكُونَ لِأَنْفُسِهِمْ ضَرًّا وَلَا نَفْعًا وَلَا يَمْلِكُونَ مَوْتًا وَلَا حَيَاةً وَلَا نُشُورًا3

3. Ate (abatakkiriza) bamuvaako ne beeteerawo ba katonda abalala abatalina kintu kyonna kye batonda so ng'ate bbo baatondebwa, era nga tebalina buyinza kwetuusaako kabi oba ekirungi, era tebalina buyinza ku kufa wadde ku bulamu wadde ku kuzuukira.
25:4Juz 18 · lup. 360

وَقَالَ الَّذِينَ كَفَرُوا إِنْ هَٰذَا إِلَّا إِفْكٌ افْتَرَاهُ وَأَعَانَهُ عَلَيْهِ قَوْمٌ آخَرُونَ ۖ فَقَدْ جَاءُوا ظُلْمًا وَزُورًا4

4. Abaakaafuwala bagamba nti ebigambo (bya Muhammad) tebirina kye biri okugyako okuba nti bulimba bwe yagunjaawo, era abantu abalala ne bamuyamba ku bwo, olwo nno ne baba nga baleese okweyisa obubi n'okutemerera.
25:5Juz 18 · lup. 360

وَقَالُوا أَسَاطِيرُ الْأَوَّلِينَ اكْتَتَبَهَا فَهِيَ تُمْلَىٰ عَلَيْهِ بُكْرَةً وَأَصِيلًا5

5. Era ne bagamba nti (byayogera) nfumo z'abaasooka, yasaba ne zimuwandiikirwa olwo nno zimusomerwa enkya n'eggulo.
25:6Juz 18 · lup. 360

قُلْ أَنْزَلَهُ الَّذِي يَعْلَمُ السِّرَّ فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۚ إِنَّهُ كَانَ غَفُورًا رَحِيمًا6

6. Bagambe nti (Kur’ani) yagissa oyo amanyi ebyama byo mu ggulu omusanvu ne nsi, mazima yye (Katonda) bulijjo musonyiyi musaasizi.
25:7Juz 18 · lup. 360

وَقَالُوا مَالِ هَٰذَا الرَّسُولِ يَأْكُلُ الطَّعَامَ وَيَمْشِي فِي الْأَسْوَاقِ ۙ لَوْلَا أُنْزِلَ إِلَيْهِ مَلَكٌ فَيَكُونَ مَعَهُ نَذِيرًا7

7. Era baagamba nti: ono mubaka wangeriki alya emmere naatambula mu butale!, singa Malayika yassibwa gyali naabeera mutiisa awamu naye (nga amuyambako).
25:8Juz 18 · lup. 360

أَوْ يُلْقَىٰ إِلَيْهِ كَنْزٌ أَوْ تَكُونُ لَهُ جَنَّةٌ يَأْكُلُ مِنْهَا ۚ وَقَالَ الظَّالِمُونَ إِنْ تَتَّبِعُونَ إِلَّا رَجُلًا مَسْحُورًا8

8. Oba eby'obugagga nebissibwa gyali (okuva mu ggulu) oba abe nga alina e nnimiro mwalya. Era abeeyisa ne bagamba nti temulina gwe mugoberera okugyako omusajja omuloge.
25:9Juz 18 · lup. 360

انْظُرْ كَيْفَ ضَرَبُوا لَكَ الْأَمْثَالَ فَضَلُّوا فَلَا يَسْتَطِيعُونَ سَبِيلًا9

9. Laba engeri gye bakukubira ebifaananyi, olwo nno ne babula, n'olwekyo tebayinza kufuna kkubo libazza (ku mazima).
25:10Juz 18 · lup. 360

تَبَارَكَ الَّذِي إِنْ شَاءَ جَعَلَ لَكَ خَيْرًا مِنْ ذَٰلِكَ جَنَّاتٍ تَجْرِي مِنْ تَحْتِهَا الْأَنْهَارُ وَيَجْعَلْ لَكَ قُصُورًا10

10. Musukkulumu oyo singa aba ayagadde yaalikuteereddewo ebirungi okusinga ebyo, (nga nabyo) g'emalimiro agakulukutiramu emigga era naakuteerawo embiri.
25:11Juz 18 · lup. 360

بَلْ كَذَّبُوا بِالسَّاعَةِ ۖ وَأَعْتَدْنَا لِمَنْ كَذَّبَ بِالسَّاعَةِ سَعِيرًا11

11. Wabula (ekibaleetera obuzibu kwe kuba nti) balimbisa olunaku lw'enkomerero, ate nga twategekera abalimbisa olunaku lw'enkomerero omuliro Saira.
25:12Juz 18 · lup. 361

إِذَا رَأَتْهُمْ مِنْ مَكَانٍ بَعِيدٍ سَمِعُوا لَهَا تَغَيُّظًا وَزَفِيرًا12

12. (Omuliro ogwo) bwe gulibalaba okusinziira ewala baliwulira mu gwo okutokota n'okududuma.
25:13Juz 18 · lup. 361

وَإِذَا أُلْقُوا مِنْهَا مَكَانًا ضَيِّقًا مُقَرَّنِينَ دَعَوْا هُنَالِكَ ثُبُورًا13

13. Bwe balisuulibwa mu gwo, nga buli omu asuulibwa mu kifo ekifunda nga balijjiddwa, olwo nno balikaaba yaaye.
25:14Juz 18 · lup. 361

لَا تَدْعُوا الْيَوْمَ ثُبُورًا وَاحِدًا وَادْعُوا ثُبُورًا كَثِيرًا14

14. Baligambibwa nti temukaaba ‘yaaye’ mulundi gumu, mukaabe ‘yaaye’ emirundi mingi.
25:15Juz 18 · lup. 361

قُلْ أَذَٰلِكَ خَيْرٌ أَمْ جَنَّةُ الْخُلْدِ الَّتِي وُعِدَ الْمُتَّقُونَ ۚ كَانَتْ لَهُمْ جَزَاءً وَمَصِيرًا15

15. Bagambe nti ekyo (eky'okuyingira omuliro) kye kirungi oba e jjana ey'olubeerera eyo eyalagaanyisibwa abatya Katonda, egenda kubeera mpeera gye bali era nga buddo.
25:16Juz 18 · lup. 361

لَهُمْ فِيهَا مَا يَشَاءُونَ خَالِدِينَ ۚ كَانَ عَلَىٰ رَبِّكَ وَعْدًا مَسْئُولًا16

16. Muyo bagenda kufuna bye baagala baakubeeramu obugenderevu (ekyo) ku Mukama omulabiriziwo ndagaano erina okukuumwa obutiribiri.
25:17Juz 18 · lup. 361

وَيَوْمَ يَحْشُرُهُمْ وَمَا يَعْبُدُونَ مِنْ دُونِ اللَّهِ فَيَقُولُ أَأَنْتُمْ أَضْلَلْتُمْ عِبَادِي هَٰؤُلَاءِ أَمْ هُمْ ضَلُّوا السَّبِيلَ17

17. N'olunaku lwalibakungaanya n'ebyo bye basinza ne baleka Katonda alibagamba nti mmwe mwabuza abaddu bange abo oba be baabulwa ekkubo.
25:18Juz 18 · lup. 361

قَالُوا سُبْحَانَكَ مَا كَانَ يَنْبَغِي لَنَا أَنْ نَتَّخِذَ مِنْ دُونِكَ مِنْ أَوْلِيَاءَ وَلَٰكِنْ مَتَّعْتَهُمْ وَآبَاءَهُمْ حَتَّىٰ نَسُوا الذِّكْرَ وَكَانُوا قَوْمًا بُورًا18

18. Baligamba nti: wasukkuluma Mukama. Tekitugwanirangako kweteerawo bakuumi balala ne tukuvaako, wabula wabeeyagaza ne bakadde baabwe okutuusa lwe beerabira okutendereza ne baba abantu ab'okuzikirira.
25:19Juz 18 · lup. 361

فَقَدْ كَذَّبُوكُمْ بِمَا تَقُولُونَ فَمَا تَسْتَطِيعُونَ صَرْفًا وَلَا نَصْرًا ۚ وَمَنْ يَظْلِمْ مِنْكُمْ نُذِقْهُ عَذَابًا كَبِيرًا19

19. (Katonda alibagamba nti) mazima babalimbisizza ku ebyo bye mwogera temusobola kweggyako bibonerezo wadde okutaasibwa, oyo yenna eyeeyisa obubi mu mmwe tumukombesa ku bibonerezo ebikambwe.
25:20Juz 18 · lup. 361

وَمَا أَرْسَلْنَا قَبْلَكَ مِنَ الْمُرْسَلِينَ إِلَّا إِنَّهُمْ لَيَأْكُلُونَ الطَّعَامَ وَيَمْشُونَ فِي الْأَسْوَاقِ ۗ وَجَعَلْنَا بَعْضَكُمْ لِبَعْضٍ فِتْنَةً أَتَصْبِرُونَ ۗ وَكَانَ رَبُّكَ بَصِيرًا20

20. Era tetwatuma olubereberye lwo babaka okugyako nga mazima bbo baliira ddala emmere nga batambula ne mu butale, era netufuula abamu ku mmwe ekikemo eri abalala, abaffe munagumiikiriza, bulijjo Mukama omulabiriziwo alabira ddala.
25:21Juz 19 · lup. 362

۞ وَقَالَ الَّذِينَ لَا يَرْجُونَ لِقَاءَنَا لَوْلَا أُنْزِلَ عَلَيْنَا الْمَلَائِكَةُ أَوْ نَرَىٰ رَبَّنَا ۗ لَقَدِ اسْتَكْبَرُوا فِي أَنْفُسِهِمْ وَعَتَوْا عُتُوًّا كَبِيرًا21

21. Abo abatasuubira kutusisinkana ne bagamba nti singa twassibwako ba Malayika oba netulaba Mukama omulabirizi waffe, mazima beekuza nnyo mu myoyo gya bwe ne babula olubula oluyitirivu.
25:22Juz 19 · lup. 362

يَوْمَ يَرَوْنَ الْمَلَائِكَةَ لَا بُشْرَىٰ يَوْمَئِذٍ لِلْمُجْرِمِينَ وَيَقُولُونَ حِجْرًا مَحْجُورًا22

22. Olunaku lwe baliraba ba Malayika tewaliba mawulire ga ssanyu ku lunaku olwo eri aboonoonyi, era (ba Malayika) baligamba nti: kikafuuwe tekigenda kubaawo (omu ku mmwe okuyingira (e jjana).
25:23Juz 19 · lup. 362

وَقَدِمْنَا إِلَىٰ مَا عَمِلُوا مِنْ عَمَلٍ فَجَعَلْنَاهُ هَبَاءً مَنْثُورًا23

23. Awo nno tulidda ku buli mulimu gwe baakola ne tugufuula olufufugge olufuumuddwa.
25:24Juz 19 · lup. 362

أَصْحَابُ الْجَنَّةِ يَوْمَئِذٍ خَيْرٌ مُسْتَقَرًّا وَأَحْسَنُ مَقِيلًا24

24. Abantu b'o mu jjana ku lunaku olwo be baliba n'obutuulo obulungi, era be baliba n'ebifo ebirungi ebiwummulirwamu.
25:25Juz 19 · lup. 362

وَيَوْمَ تَشَقَّقُ السَّمَاءُ بِالْغَمَامِ وَنُزِّلَ الْمَلَائِكَةُ تَنْزِيلًا25

25. N'olunaku eggulu lwe liriyatikamu ne riba nga lijjudde ebire, era ba Malayika ne bassibwa olussibwa.
25:26Juz 19 · lup. 362

الْمُلْكُ يَوْمَئِذٍ الْحَقُّ لِلرَّحْمَٰنِ ۚ وَكَانَ يَوْمًا عَلَى الْكَافِرِينَ عَسِيرًا26

26. Obufuzi obwa nnamaddala ku lunaku olwo buliba bwa Mukama Katonda ow'ekisa ekingi, lugenda kuba lunaku luzito nnyo ku bakaafiiri.
25:27Juz 19 · lup. 362

وَيَوْمَ يَعَضُّ الظَّالِمُ عَلَىٰ يَدَيْهِ يَقُولُ يَا لَيْتَنِي اتَّخَذْتُ مَعَ الرَّسُولِ سَبِيلًا27

27. Era olunaku eyeeyisa obubi lwaliruma engaloze aligamba nti zinsanze, singa nateekawo ekkubo erinnyunga ku Mubaka.
25:28Juz 19 · lup. 362

يَا وَيْلَتَىٰ لَيْتَنِي لَمْ أَتَّخِذْ فُلَانًا خَلِيلًا28

28. Nga ndabye nze singa ssaafuula gundi w'amukwano.
25:29Juz 19 · lup. 362

لَقَدْ أَضَلَّنِي عَنِ الذِّكْرِ بَعْدَ إِذْ جَاءَنِي ۗ وَكَانَ الشَّيْطَانُ لِلْإِنْسَانِ خَذُولًا29

29. Mazima yambuza nanzigya ku kubuulirira oluvanyuma lw'okuba nti kwanzijira, anti bulijjo Sitane ayabulira omuntu.
25:30Juz 19 · lup. 362

وَقَالَ الرَّسُولُ يَا رَبِّ إِنَّ قَوْمِي اتَّخَذُوا هَٰذَا الْقُرْآنَ مَهْجُورًا30

30. Omubaka aligamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, mazima abantu bange Kur’ani eno baagifuula kifulukwa.
25:31Juz 19 · lup. 362

وَكَذَٰلِكَ جَعَلْنَا لِكُلِّ نَبِيٍّ عَدُوًّا مِنَ الْمُجْرِمِينَ ۗ وَكَفَىٰ بِرَبِّكَ هَادِيًا وَنَصِيرًا31

31. Era bwe kityo buli Nabbi twamuteerawo omulabe nga ava mu boonoonyi, era Mukama omulabiriziwo amala okuba nga ye mulungamya era omutaasa.
25:32Juz 19 · lup. 362

وَقَالَ الَّذِينَ كَفَرُوا لَوْلَا نُزِّلَ عَلَيْهِ الْقُرْآنُ جُمْلَةً وَاحِدَةً ۚ كَذَٰلِكَ لِنُثَبِّتَ بِهِ فُؤَادَكَ ۖ وَرَتَّلْنَاهُ تَرْتِيلًا32

32. Abo abaakaafuwala ne bagamba nti singa Kur’ani yassibwa ku ye omulundi gumu, twagissa bwe tutyo (mu bitundu tundu) tube nga tunyweza nayo omutimagwo era ne tugikusomera olusoma (mpola mpola).
25:33Juz 19 · lup. 363

وَلَا يَأْتُونَكَ بِمَثَلٍ إِلَّا جِئْنَاكَ بِالْحَقِّ وَأَحْسَنَ تَفْسِيرًا33

33. Tebalina lwe bakuleetera kyakulabirako wabula nga tukuleetera amazima n'ennyinyonnyola esinga obulungi.
25:34Juz 19 · lup. 363

الَّذِينَ يُحْشَرُونَ عَلَىٰ وُجُوهِهِمْ إِلَىٰ جَهَنَّمَ أُولَٰئِكَ شَرٌّ مَكَانًا وَأَضَلُّ سَبِيلًا34

34. Abo abaliwalulirwa ku byenyi bya bwe nga batwalibwa mu muliro Jahannama, abo be bali mu kifo ekisinga obubi era be basinga okubula okuva ku kkubo.
25:35Juz 19 · lup. 363

وَلَقَدْ آتَيْنَا مُوسَى الْكِتَابَ وَجَعَلْنَا مَعَهُ أَخَاهُ هَارُونَ وَزِيرًا35

35. Mazima twawa Musa ekitabo ne tumussaako Mugandawe Haruna nga muyambi.
25:36Juz 19 · lup. 363

فَقُلْنَا اذْهَبَا إِلَى الْقَوْمِ الَّذِينَ كَذَّبُوا بِآيَاتِنَا فَدَمَّرْنَاهُمْ تَدْمِيرًا36

36. Netugamba nti mwembi mugende eri abantu abaalimbisa ebigambo byaffe, olwo nno ne tubazikiriza oluzikiriza.
25:37Juz 19 · lup. 363

وَقَوْمَ نُوحٍ لَمَّا كَذَّبُوا الرُّسُلَ أَغْرَقْنَاهُمْ وَجَعَلْنَاهُمْ لِلنَّاسِ آيَةً ۖ وَأَعْتَدْنَا لِلظَّالِمِينَ عَذَابًا أَلِيمًا37

37. N'abantu ba Nuhu bwe baalimbisa ababaka twabazikiririza mu mazzi netubafuula eky'okulabirako eri abantu.Era twategekera abeeyisa obubi ebibonerezo ebiruma.
25:38Juz 19 · lup. 363

وَعَادًا وَثَمُودَ وَأَصْحَابَ الرَّسِّ وَقُرُونًا بَيْنَ ذَٰلِكَ كَثِيرًا38

38. Era twazikiriza abantu ba A’di, n'aba Thamud, era ne ba nannyini luzzi, era netuzikiriza n'abantu b'emirembe emirala mingi wakati w'abo.
25:39Juz 19 · lup. 363

وَكُلًّا ضَرَبْنَا لَهُ الْأَمْثَالَ ۖ وَكُلًّا تَبَّرْنَا تَتْبِيرًا39

39. Buli mulembe ku egyo twabakubiranga ebifaananyi (ebyabo abaabasookawo), era buli bamu ku abo twabazikiriza oluzikirira (olw'obugyemu bwa bwe).
25:40Juz 19 · lup. 363

وَلَقَدْ أَتَوْا عَلَى الْقَرْيَةِ الَّتِي أُمْطِرَتْ مَطَرَ السَّوْءِ ۚ أَفَلَمْ يَكُونُوا يَرَوْنَهَا ۚ بَلْ كَانُوا لَا يَرْجُونَ نُشُورًا40

40. (Abagatta ku Katonda ebintu ebirala ab'e Makkah baali batambula e gendo zaabwe) mazima baatuuka mu kitundu ekya fukumulwako ebibonerezo ebibi (amayinja agaakuba ab'omulembe gwa Luutu). Abaffe baali tebakiraba (ne beebuulirira) wabula baali tebasuubira kuzuukira.
25:41Juz 19 · lup. 363

وَإِذَا رَأَوْكَ إِنْ يَتَّخِذُونَكَ إِلَّا هُزُوًا أَهَٰذَا الَّذِي بَعَثَ اللَّهُ رَسُولًا41

41. Era bwe baba bakulabye tebalina ngeri gye bakulaba okugyako ekyokujeeja obujeeja (nga bwe bagamba) nti ono yooyo Katonda gwatumye nga Mubaka!.
25:42Juz 19 · lup. 363

إِنْ كَادَ لَيُضِلُّنَا عَنْ آلِهَتِنَا لَوْلَا أَنْ صَبَرْنَا عَلَيْهَا ۚ وَسَوْفَ يَعْلَمُونَ حِينَ يَرَوْنَ الْعَذَابَ مَنْ أَضَلُّ سَبِيلًا42

42. Ali kumpi nnyo okutubuza nga atujja ku ba katonda baffe singa tunaaba tetunyweredde ku kusinza bbo, era bajja kumanya mu kiseera webanaalabira ebibonerezo ani eyabula okuva ku kkubo (eggolokofu).
25:43Juz 19 · lup. 363

أَرَأَيْتَ مَنِ اتَّخَذَ إِلَٰهَهُ هَوَاهُ أَفَأَنْتَ تَكُونُ عَلَيْهِ وَكِيلًا43

43. Abaffe olaba oyo afuula okwagalakwe nga ye Katonda we, abaffe ggwe onoobeera ku ye omweyimirize.
25:44Juz 19 · lup. 364

أَمْ تَحْسَبُ أَنَّ أَكْثَرَهُمْ يَسْمَعُونَ أَوْ يَعْقِلُونَ ۚ إِنْ هُمْ إِلَّا كَالْأَنْعَامِ ۖ بَلْ هُمْ أَضَلُّ سَبِيلًا44

44. Oba olowooza nti abasinga obungi mu bo bawulira ebigambo bya Katonda, oba babitegeera, tebalina kye bali ku ebyo okugyako balinga nsolo, wabula bo be baabula okuva ku kkubo eggolokofu.
25:45Juz 19 · lup. 364

أَلَمْ تَرَ إِلَىٰ رَبِّكَ كَيْفَ مَدَّ الظِّلَّ وَلَوْ شَاءَ لَجَعَلَهُ سَاكِنًا ثُمَّ جَعَلْنَا الشَّمْسَ عَلَيْهِ دَلِيلًا45

45. Abaffe tolaba Mukama omulabiriziwo engeri gyawanvuyaamu ekisiikirize, singa yayagala yaali kirese nga kiyimiridde mu kifo kimu, ate twafuula enjuba nga y'eraga okubaawo n'okutambula kw'ekisiikirize.
25:46Juz 19 · lup. 364

ثُمَّ قَبَضْنَاهُ إِلَيْنَا قَبْضًا يَسِيرًا46

46. Bwe tumala tukikwata ne tukiggyawo nga tukiggyawo mpola mpola.
25:47Juz 19 · lup. 364

وَهُوَ الَّذِي جَعَلَ لَكُمُ اللَّيْلَ لِبَاسًا وَالنَّوْمَ سُبَاتًا وَجَعَلَ النَّهَارَ نُشُورًا47

47. Era yye (Katonda) yooyo eyabateerawo ekiro nga kibikka, naabateerawo n'okwebaka nga kuwummula naateekawo obudde obw'emisana nga mwe musaasaanira (olw'okunoonya eky'okulya).
25:48Juz 19 · lup. 364

وَهُوَ الَّذِي أَرْسَلَ الرِّيَاحَ بُشْرًا بَيْنَ يَدَيْ رَحْمَتِهِ ۚ وَأَنْزَلْنَا مِنَ السَّمَاءِ مَاءً طَهُورًا48

48. Era yye yooyo asindika empewo nga zisaasaanya amawulire ag'essanyu (enkuba) nga ekyo kiri wansi wa mikono gya kusaasirakwe, era tussa okuva mu ggulu amazzi amayonjo.
25:49Juz 19 · lup. 364

لِنُحْيِيَ بِهِ بَلْدَةً مَيْتًا وَنُسْقِيَهُ مِمَّا خَلَقْنَا أَنْعَامًا وَأَنَاسِيَّ كَثِيرًا49

49. Tube nga tuzza buggya ekitundu ekikaze era tuganywese bingi mu bye twatonda (nga) ebisolo n'abantu bangi.
25:50Juz 19 · lup. 364

وَلَقَدْ صَرَّفْنَاهُ بَيْنَهُمْ لِيَذَّكَّرُوا فَأَبَىٰ أَكْثَرُ النَّاسِ إِلَّا كُفُورًا50

50. Era mazima twaginnyonnyola (Kur’ani) mu bo babe nga beebuulirira wabula abantu abasinga obungi ne bagaana era nebakalambirira ku bukaafiiri.
25:51Juz 19 · lup. 364

وَلَوْ شِئْنَا لَبَعَثْنَا فِي كُلِّ قَرْيَةٍ نَذِيرًا51

51. Singa twayagala buli kitundu twandikitumidde omutiisa, (naye twasalawo obeere omubaka eri bonna).
25:52Juz 19 · lup. 364

فَلَا تُطِعِ الْكَافِرِينَ وَجَاهِدْهُمْ بِهِ جِهَادًا كَبِيرًا52

52. N'olwekyo togondera bakaafiiri (kozesa Kur’ani) obalwanyise olulwana olw'amanyi.
25:53Juz 19 · lup. 364

۞ وَهُوَ الَّذِي مَرَجَ الْبَحْرَيْنِ هَٰذَا عَذْبٌ فُرَاتٌ وَهَٰذَا مِلْحٌ أُجَاجٌ وَجَعَلَ بَيْنَهُمَا بَرْزَخًا وَحِجْرًا مَحْجُورًا53

53. Era (Katonda) yooyo eyagatta amazzi ag'ennyanja ebbiri (ez'enjawulo), gano malungi nnyo era nga ganywebwa ate nga gali g'amunnyu teganywebwa, era yassa wakati wa gombi ekyawula era ekiziyiza ekigagaana okwetabula.
25:54Juz 19 · lup. 364

وَهُوَ الَّذِي خَلَقَ مِنَ الْمَاءِ بَشَرًا فَجَعَلَهُ نَسَبًا وَصِهْرًا ۗ وَكَانَ رَبُّكَ قَدِيرًا54

54. Era yye yooyo eyatonda omuntu nga amuggya mu mazzi, (mu muntu oyo yennyini) naggyamu ab'oluganda n'abako. Bulijjo Mukama omulabiriziwo muyinza.
25:55Juz 19 · lup. 364

وَيَعْبُدُونَ مِنْ دُونِ اللَّهِ مَا لَا يَنْفَعُهُمْ وَلَا يَضُرُّهُمْ ۗ وَكَانَ الْكَافِرُ عَلَىٰ رَبِّهِ ظَهِيرًا55

55. (Ate abantu balekawo Katonda) ne basinza ebintu ebirala ebitali Katonda ebyo ebitabagasa era ebitayinza kubatuusaako kabi, era bulijjo omukaafiiri ayamba Sitane mu kulwanyisa Mukama omulabiriziwe.
25:56Juz 19 · lup. 365

وَمَا أَرْسَلْنَاكَ إِلَّا مُبَشِّرًا وَنَذِيرًا56

56. Era tetwakutuma okugyako nga oli omusanyusa era omutiisa.
25:57Juz 19 · lup. 365

قُلْ مَا أَسْأَلُكُمْ عَلَيْهِ مِنْ أَجْرٍ إِلَّا مَنْ شَاءَ أَنْ يَتَّخِذَ إِلَىٰ رَبِّهِ سَبِيلًا57

57. Gamba nti: (kino kye nkola) sikibasabaako mpeera (era sirina kye njagala) okugyako oyo asalawo okweteerawo ekkubo erimutwala eri Mukama omulabiriziwe.
25:58Juz 19 · lup. 365

وَتَوَكَّلْ عَلَى الْحَيِّ الَّذِي لَا يَمُوتُ وَسَبِّحْ بِحَمْدِهِ ۚ وَكَفَىٰ بِهِ بِذُنُوبِ عِبَادِهِ خَبِيرًا58

58. Era weekwate ku mulamu oyo atafa, era otendereze ebitendobye. Kimala okuba nti yye amanyidde ddala ebyonoono bya baddube.
25:59Juz 19 · lup. 365

الَّذِي خَلَقَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ وَمَا بَيْنَهُمَا فِي سِتَّةِ أَيَّامٍ ثُمَّ اسْتَوَىٰ عَلَى الْعَرْشِ ۚ الرَّحْمَٰنُ فَاسْأَلْ بِهِ خَبِيرًا59

59. Oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi mu nnaku mukaaga oluvanyuma naatereera ku Arishi (Katonda) omusaasizi ow'ekisa ekingi (bwoba oyagala okumumanya) buuza abakenkufu ku bimukwatako.
25:60Juz 19 · lup. 365

وَإِذَا قِيلَ لَهُمُ اسْجُدُوا لِلرَّحْمَٰنِ قَالُوا وَمَا الرَّحْمَٰنُ أَنَسْجُدُ لِمَا تَأْمُرُنَا وَزَادَهُمْ نُفُورًا ۩60

60. (Abakaafiiri) bwe bagambibwa nti muvunnamire omusaasizi ow'ekisa ekingi (Katonda), bagamba nti omusaasizi ow'ekisa ekingi oyo yaani! Tumale gavunnamira oyo gwotulagira (nga tetumanyi) ne kibongera kwesamba (ddiini).
25:61Juz 19 · lup. 365

تَبَارَكَ الَّذِي جَعَلَ فِي السَّمَاءِ بُرُوجًا وَجَعَلَ فِيهَا سِرَاجًا وَقَمَرًا مُنِيرًا61

61. Musukkulumu oyo eyassa mu ggulu ebifo ebibeeramu emmunyeenye, era nassaamu ettaala (enjuba eyaka) n'omwezi oguwa ekitangaala.
25:62Juz 19 · lup. 365

وَهُوَ الَّذِي جَعَلَ اللَّيْلَ وَالنَّهَارَ خِلْفَةً لِمَنْ أَرَادَ أَنْ يَذَّكَّرَ أَوْ أَرَادَ شُكُورًا62

62. Era yye yooyo eyassaawo ekiro n'emisana nga bigoberegana (yabiteerawo) oyo ayagala okwebuulirira oba ayagala okwebaza.
25:63Juz 19 · lup. 365

وَعِبَادُ الرَّحْمَٰنِ الَّذِينَ يَمْشُونَ عَلَى الْأَرْضِ هَوْنًا وَإِذَا خَاطَبَهُمُ الْجَاهِلُونَ قَالُوا سَلَامًا63

63. Bo abaddu ba Katonda beebo abatambula ku nsi nga bakkakkamu. Abatategeera bwe boogera nabo (ebintu by'ekiyaaye) bo baddamu nti mirembe.
25:64Juz 19 · lup. 365

وَالَّذِينَ يَبِيتُونَ لِرَبِّهِمْ سُجَّدًا وَقِيَامًا64

64. Era beebo kulwa Mukama omulabirizi waabwe abasula nga bavunnama era abayimirira (nga basaala).
25:65Juz 19 · lup. 365

وَالَّذِينَ يَقُولُونَ رَبَّنَا اصْرِفْ عَنَّا عَذَابَ جَهَنَّمَ ۖ إِنَّ عَذَابَهَا كَانَ غَرَامًا65

65. Era beebo abagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tuwuguleko ebibonerezo by'omuliro Jahannama anti mazima ebibonerezo byagwo bya lubeerera.
25:66Juz 19 · lup. 365

إِنَّهَا سَاءَتْ مُسْتَقَرًّا وَمُقَامًا66

66. Mazima ggwo kifo era butuulo bubi.
25:67Juz 19 · lup. 365

وَالَّذِينَ إِذَا أَنْفَقُوا لَمْ يُسْرِفُوا وَلَمْ يَقْتُرُوا وَكَانَ بَيْنَ ذَٰلِكَ قَوَامًا67

67. (Abaddu ba Katonda) era beebo bwe baba nga bagabye tebadiibuuda era tebaganiriza, okuwaayo kwa bwe kuli wakati w'ebyo byombi.
25:68Juz 19 · lup. 366

وَالَّذِينَ لَا يَدْعُونَ مَعَ اللَّهِ إِلَٰهًا آخَرَ وَلَا يَقْتُلُونَ النَّفْسَ الَّتِي حَرَّمَ اللَّهُ إِلَّا بِالْحَقِّ وَلَا يَزْنُونَ ۚ وَمَنْ يَفْعَلْ ذَٰلِكَ يَلْقَ أَثَامًا68

68. Era beebo abatasinza kintu kirala awamu ne Katonda, era abatatta muntu oyo Katonda gwe yaziza okugyako nga waliwo ensonga, era abatayenda, omuntu akola ekimu ku ebyo agenda kusisinkana (e bibonerezo) bye bibi (bye).
25:69Juz 19 · lup. 366

يُضَاعَفْ لَهُ الْعَذَابُ يَوْمَ الْقِيَامَةِ وَيَخْلُدْ فِيهِ مُهَانًا69

69. (Si kye kyokka wabula) ebibonerezobye bigenda kubazibwamu ku lunaku lw'enkomerero era waakubituulamu obugenderevu mu ngeri enyoomesa.
25:70Juz 19 · lup. 366

إِلَّا مَنْ تَابَ وَآمَنَ وَعَمِلَ عَمَلًا صَالِحًا فَأُولَٰئِكَ يُبَدِّلُ اللَّهُ سَيِّئَاتِهِمْ حَسَنَاتٍ ۗ وَكَانَ اللَّهُ غَفُورًا رَحِيمًا70

70. Okugyako oyo alyenenya nakkiriza naakola emirimu emirungi. Abo nno Katonda ebibi bya bwe agenda kubawaanyisizaamu ebirungi. Era bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi.
25:71Juz 19 · lup. 366

وَمَنْ تَابَ وَعَمِلَ صَالِحًا فَإِنَّهُ يَتُوبُ إِلَى اللَّهِ مَتَابًا71

71. Omuntu yenna ayeenenya naakola emirimu emirungi, mazima yye aba yeemenyedde Katonda olw'emenya olwannamaddala.
25:72Juz 19 · lup. 366

وَالَّذِينَ لَا يَشْهَدُونَ الزُّورَ وَإِذَا مَرُّوا بِاللَّغْوِ مَرُّوا كِرَامًا72

72. (Abaddu ba Katonda) era beebo tebawa bujulizi ku bigambo bya bulimba, era bwe bayita mu bifo omukolerwa ebitali bya magezi bayitawo nga beewa ekitiibwa.
25:73Juz 19 · lup. 366

وَالَّذِينَ إِذَا ذُكِّرُوا بِآيَاتِ رَبِّهِمْ لَمْ يَخِرُّوا عَلَيْهَا صُمًّا وَعُمْيَانًا73

73. Era beebo bwe bajjukizibwa ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe tebabidduka nga ba kiggala oba ba muzibe.

وَالَّذِينَ يَقُولُونَ رَبَّنَا هَبْ لَنَا مِنْ أَزْوَاجِنَا وَذُرِّيَّاتِنَا قُرَّةَ أَعْيُنٍ وَاجْعَلْنَا لِلْمُتَّقِينَ إِمَامًا74

74. Era beebo abagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tuwe nga oggya mu betwafumbiriganwa nabo era nga oggya ne mu zadde lyaffe ekitebenkeza amaaso gaffe, era otufuule abakulembeze baabo abakutya.
25:75Juz 19 · lup. 366

أُولَٰئِكَ يُجْزَوْنَ الْغُرْفَةَ بِمَا صَبَرُوا وَيُلَقَّوْنَ فِيهَا تَحِيَّةً وَسَلَامًا75

75. Abo nno bagenda kusasulwa nga baweebwa ebifo bya waggulu olw'obugumiikiriza bwe baakola. Nga bali mu byo bagenda kuweebwa ebiramuso ne ssalaamu (eziriva mu ba Malayika).
25:76Juz 19 · lup. 366

خَالِدِينَ فِيهَا ۚ حَسُنَتْ مُسْتَقَرًّا وَمُقَامًا76

76. Baakubeeramu olubeerera nga butebenkero era butuulo obulungi.
25:77Juz 19 · lup. 366

قُلْ مَا يَعْبَأُ بِكُمْ رَبِّي لَوْلَا دُعَاؤُكُمْ ۖ فَقَدْ كَذَّبْتُمْ فَسَوْفَ يَكُونُ لِزَامًا77

77. Bagambe (ggwe Muhammad abo abawakanya Katonda) nti Katonda talina kimutawaanya lwa kuba nti temumusaba, mazima mwalimbisa era mu bwangu mujja kutuukibwako e bibonerezo ebyakakata edda ku mmwe.

Zannya okuva ku ntandikwa y'ensura